Ezra 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola batyo. Ezira kabona n'alonda abasajja abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, omu omu okuva mu buli lunyiriri, ng'agoberera erinnya lya buli omu. Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'ekkumi, ne batuula okwekenneenya ensonga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ng’ekiteeso bwe kyali. Ezera kabona n’abaalondebwa ku bakulu b’ennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana b'obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n'alonda abasajja, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era n'awandiika amannya gaabwe; ne batuula ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, okwetegereza ekigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakkiriza entegeka eyo. Awo Ezera, kabona n'alonda abasajja okuva mu bakulu b'ebika ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, n'awandiika amannya gaabwe. Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'ekkumi, ne batandika okunoonyereza ku nsonga eyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana b'obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n'abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era bonna ng'amannya gaabwe bwe gaali, ne bayawulibwa; ne batuula ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi okukebera ekigambo ekyo.