Ezra 10:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu baana ba bakabona abaasangibwamu nga bawasizza abakazi abagwira baali: mu bazzukulu ba Yeswa bazzukulu wa Yozadaki ne baganda be: Maaseeya, Eliyezeri, Yaribu ne Gedaliya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu lulyo olwa bakabona, abaali bawasizza abakazi bannamawanga baali: Maaseya, ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya bazzukulu ba Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu batabani ba bakabona ne musangibwamu abaali bawasizza abakazi bannamawanga; ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya, Eryeza, Yalibu ne Gedaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu batabani ba bakabona ne musangibwamu abaali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala: Mu batabani ba Yeswa mutabani wa Yehozadaaki ne baganda be, mwalimu Maaseya ne Eliyezeeri, ne Yalibu ne Gedaliya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu batabani ba bakabona ne mulabika abaali bawasizza abakazi bannaggwanga: ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya.