Ezra 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna beeyama okugoba bakazi baabwe, ate n'okuleeta endiga ennume okuva mu magana ey'ekitambiro eky'omusango olw'emisango gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, n’omutango gwe baawaayo olw’omusango gwali ndiga nnume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ne basuubiza okugoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ne basuubiza okugoba bakazi baabwe, era kubanga omusango gubasinze, ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo kyabwe olw'ekibi kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawaayo emikono gyabwe nga banaagoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe.