Ezra 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sekaniya mutabani wa Yekiyeli asibuka mu baana ba Elamu, n'ayanukula Ezira nti: “Twasobya ewa Katonda waffe bwe twawasa abakazi abagwira mu bantu b'ensi eno. Newandibadde bwe guli, era Yisirayeli akyalimu ku ssuubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu n’agamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n'addamu n'agamba Ezera nti, “Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannamawanga ab'oku mawanga ag'omu nsi, naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw'ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sekaniya, mutabani wa Yehiyeeli, ow'omu zzadde lya Elamu, n'agamba Ezera nti: “Tunyiizizza Katonda waffe, ne tuwasa abakazi ab'amawanga amalala abali mu nsi eno. Naye era Yisirayeli ekyalina essuubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n'addamu n'agamba Ezera nti Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannaggwanga ab'oku mawanga ag'omu nsi: naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw'ekyo.