Ezra 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka tukole endagaano n'Omukama Katonda waffe, abakazi bonna tubagobe wamu n'abaana baabwe, okusinziira ku nteesa yo, mukama wange, n'ey'abo abatya ebiragiro by'Omukama Katonda waffe. Tukole ng'Etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n'abo be baazaala, ng'okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n'abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng'amateeka ge bwe gali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kaakano tukole endagaano ne Katonda waffe, tugobe abakazi bano bonna n'ab'ezzadde lyaabwe, nga tugoberera amagezi, ggwe mukama wange, n'abo abagondera ebiragiro bya Katonda waffe, ge munaatuwa, era tukole ng'amateeka bwe galagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n'abo be baazaala, ng'okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n'abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng'amateeka bwe gali.