Ezra 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situkiramu. Kola omulimu gwo; tuli naawe, guma, kikole.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Situka, kubanga ogwo mulimu gwo, naffe tuli wamu naawe; guma omwoyo okikole.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Situka, kubanga ogwo mulimu gwo, era naffe tuli wamu naawe. Guma omwoyo, okikole.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka; kubanga ekigambo kikyo, naffe tuli naawe: guma omwoyo okikole.