Ezra 10:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bonna baali bawasizza abakazi abagwira, era abamu baali bazadde n'abaana mu bakazi bano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, n’abamu ku bo nga babazaddemu abaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazaddemu abaana, bonna ne babagoba n'abaana baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna baali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala, era nga n'abamu babazaddemu abaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna baali bawasizza abakazi bannaggwanga: era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazademu abaana.