Ezra 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira n'asituka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Yisirayeli yenna okukola ekyali kyanjuddwa. Ne balayira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ezera n’agolokoka n’alayiza bakabona abakulu n’Abaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ezera n'alyoka asituka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakola ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ezera n'asituka n'alayiza abakulu ba bakabona n'Abaleevi, n'Abayisirayeli bonna, okukolera ku ekyo ekyogeddwa. Awo ne balayira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ezera n'alyoka agolokoka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakolanga ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira.