Ezra 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira n'ava mu maaso g'Ekiggwa kya Katonda n'agenda mu kisenge ewa Yokanani mutabani wa Eliyasibu, n'asula eyo nga takombye ku mmere yadde okunywa ku tuzzi, kubanga yali akyanyolwa olw'ekyonoono ky'abaali bavudde mu buwaŋŋanguse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezera n’agolokoka n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda n’agenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye n’atalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ng’akyanakuwalidde obutali bwesigwa bw’abaawaŋŋangusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ezera n'alyoka asituka okuva mu maaso g'ennyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, awo bwe yatuukayo, n'atalya mmere so teyanywa mazzi, kubanga yanakuwala olw'okusobya kw'abo ab'obusibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ezera n'asituka n'ava mu maaso g'Essinzizo, n'ayingira mu kisenge kya Yehohanani, mutabani wa Eliyasibu, n'amalayo ekiro ekyo nga talidde era nga tanywedde, ng'akungubagira Abayisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse olw'obutaba beesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ezera n'alyoka agolokoka okuva mu maaso g'ennyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu: awo bwe yatuukayo, n'atalya mmere so teyanywa mazzi: kubanga yanakuwala olw'okusobya ku abo ab'obusibe.