Ezra 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yandiremereddwa okutuusa mu nnaku ssatu, abafuzi n'abakadde baali bateesezza nti ebintu bye byonna biboowebwe, naye yennyini aggyibwe mu kibiina ky'abo abawaŋŋangusibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate n’agobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era buli atalijja mu bbanga ery'ennaku ssatu, ng'okuteesa kw'abakulu n'abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky'obusibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nti buli atalijja mu bbanga lya nnaku ssatu, ng'abakungu n'abakulembeze bwe balagidde, alifiirwa ebintu bye byonna, era naye yennyini aligobwa mu kibiina ky'abavudde mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era buli atalijja mu bbanga ery'ennaku ssatu, ng'okuteesa kw'abakulu n'abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky'obusibe.