Ezra 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ssatu abasajja bonna aba Yuda n'ab'ekika kya Benyamiini baali bamaze okukuŋŋaanira mu Yeruzaalemu. Mu mwezi ogwomwenda, ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi, abantu bonna ne batuula mu luggya lw'Ekiggwa kya Katonda; baali bakankana olw'ensonga eyo n'olw'enkuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi ogw’omwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda nga banakuwavu olw’ensonga eyo ate era n’olw’enkuba eyatonnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery'ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g'ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw'ensonga eyo n'olw'enkuba ennyingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini ne bakuŋŋaanira e Abasiriya mu bbanga lya nnaku ssatu. Olunaku lwali lwa makumi abiri olw'omwezi ogw'omwenda, abantu bonna ne batuula mu luggya, mu maaso g'Essinzizo, nga bakankana olw'obukulu bw'olukuŋŋaana, n'olw'enkuba ennyingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery'ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi: abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g'ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw'ekigambo ekyo n'olw'enkuba ennyingi.