Ezra 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be bantu ab'omu ttwale abaayambuka nga bava mu busibe bw'abawaŋŋangusibwa, Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni be yali atutte mu busibe mu Babiloni, ne bakomawo mu Yeruzaalemu ne mu Yuda, buli omu n'adda mu kibuga kye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bano be bantu ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni be yatwala e Babbulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bantu ab'omu ttwale ly'e Buyudaaya, abamu ku abo abaawaŋŋangusirizibwa mu Babilooni ne babeerayo okuviira ddala Kabaka Nebukadunezzari lwe yabatwalayo nga basibe, abaakomawo mu Abasiriya ne mu bitundu ebirala eby'omu Buyudaaya, buli omu n'adda mu kibuga ky'ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be baana ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala e Babulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;