Ezra 2:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi: bazzukulu ba Yeswa ne Kadumyeli, ab'omu nnyumba ya Odaviya, nsanvu mu bana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi abaava mu buwanganguse be bano: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, nga basibuka mu Kodaviya, nsanvu mu bana (74).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi be bano: ab'ezzadde lya Yeswa ne Kadumyeli, ab'ennyumba ya Hoodaviya, nsanvu mu bana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaleevi: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, ab'oku baana ba Kodaviya, nsanvu mu bana.