Ezra 2:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaggazi: bazzukulu ba Sallumu, Ateri, Talumoni, Akkubu, Katita ne Sobayi, bonna wamu kikumi mu asatu mu mwenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be baakuumanga enzigi za yeekaalu: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana b'abaggazi be bano: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda (139).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ezzadde ly'abaggazi be bano: ab'ezzadde lya Sallumu, n'aba Ateri, n'aba Talumooni, n'aba Akkubu, n'aba Hatita, n'aba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana b'abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda.