Ezra 2:59 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be badda nga bava mu bibuga Teli-Melaki, Teli-Karusa, Kerubi, Addoni ne Yimmeri, naye nga tebasobola kutegeeza oba ennyumba ya bajjajjaabwe n'olulyo nga bya mu Yisirayeli:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe oba obuzaale bwabwe oba okulaga nti Baisiraeri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaava e Telumela, n'e Teluharusa, n'e Kerubi, n'e Addani, n'e Yimmeri, naye ne batasobola kukakasa buzaale bwabwe oba okulaga nti Bayisirayeli, be bano:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe n'okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: