Ezra 2:61 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mu ba bakabona: bazzukulu ba Kobaaya, bazzukulu ba Akkozi, bazzukulu ba Baruzillayi, eyawasa mu bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi n'ayitibwa erinnya eryo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku baana ba bakabona; abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi n'abaana ba Baluzirayi. Baluzirayi oyo yawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ab'ezzadde lya bakabona be bano: ab'ezzadde lya Habaaya, ab'ezzadde lya Hakkozi, ab'ezzadde lya Baruzillayi. Baruzillayi oyo yawasa omu ku bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku baana ba bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi eyawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali.