Ezra 2:62 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano baanoonya obuwandiike bw'olulyo lwabwe ne batabuzuula, ne bagobebwa mu bakabona olw'obutaba balongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ne baanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika, kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ne banoonya amannya gaabwe mu nkalala z'obuzaale, naye ne batalabikamu, kye baava baboolebwa mu bwakabona nti si balongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo ne banoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika: kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona.