Ezra 2:63 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owessaza n'abagaana okulyanga ku bintu ebitukuvu ennyo, okutuusa nga wazzeewo kabona aweereza ne Wurimu ne Tummimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu waabwe n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona ayinza okwebuuza ng'akozesa Ulimu ne Sumimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu waabwe n'abagamba nti tebateekwa kulya ku biweebwayo eri Katonda, okutuusa nga bafunye kabona asobola okukozesa Wurimu ne Tummimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tirusaasa n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona alina Ulimu ne Sumimu.