Ezra 2:68 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'endyo abamu bwe baatuuka ku Kiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu, ne batona kyeyagalire eby'okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu kifo kyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abamu ku bakulu be nnyumba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'okuyamba okuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku bakulu b'ebika ebiri mu Abasiriya, bwe baatuuka mu Ssinzizo lya Mukama, ne bawaayo nga beeyagalidde eby'okuyamba okuddamu okuzimba Essinzizo lya Katonda mu kifo kyalyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda okugisimba mu kifo kyayo: