Ezra 2:69 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwanika ly'omulimu baawaamu nga bwe basobola: durakuma emitwalo mukaaga mu lukumi eza zaabu, mina enkumi ttaano eza ffeeza, n'ekkanzu za bakabona kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bawaayo nga bwe baasobola, ebinaakola omulimu ogwo. Byonna ebyaweebwayo mu ggwanika byali: Daliki emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000) eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano (5,000), n'ebyambalo bya bakabona kikumi (100).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawaayo nga bwe baasobola, ebinaakola omulimu ogwo. Byonna ebyaweebwayo byali kilo bitaano eza zaabu, kilo enkumi bbiri mu lunaana eza ffeeza n'ebyambalo bya bakabona kikumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bawa ng'obuyinza bwabwe bwe bwali mu ggwanika ery'omulimu daliki obukumi mukaaga mu lukumi eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano, n'ebyambalo bya bakabona kikumi.