Ezra 2:70 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona n'Abaleevi baasulanga mu bibuga byabwe, wamu n'abantu abamu, n'abayimbi, abaggazi n'abaweereza b'omu Kiggwa; Abayisirayeli abalala bonna baasenga mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'abaweerezanga mu Yeekaalu ne babeeranga mu bibuga byabwe n'aba Isiraeri abalala bonna ne babeeranga mu bibuga ebyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu abalala, n'abayimbi n'abaggazi, n'abaweereza ab'omu Ssinzizo, ne baabeeranga mu bibuga byabwe, n'Abayisirayeli abalala bonna ne baabeeranga mu bibuga ebyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'Abanesinimu ne babeeranga mu bibuga byabwe ne Isiraeri yenna mu bibuga byabwe.