Ezra 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazimbi bwe baamala okubanga omusingi gw'Ekiggwa ky'Omukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe, nga bakutte n'amakondeere, n'Abaleevi, batabani ba Asafu nga bakutte ensaazo, ne bayimirira mu bifo byabwe batendereze Katonda nga Dawudi kabaka wa Yisirayeli bwe yalagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya Yeekaalu ya Mukama, bakabona ne bajja nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakkondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abazimbi bwe baatandika okuzimba omusingi gw'Essinzizo, bakabona ne bajja nga bambadde ebyambalo byabwe, nga bafuuwa amakondeere, n'Abaleevi ab'omu baana b'Asafu nga bakuba ebitaasa okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Yisirayeli bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya yeekaalu ya Mukama, ne bateeka bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka.