Ezra 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayimba nga batendereza n'okwebaza Omukama nti: “Mulungi, kubanga ekisa kye ku Yisirayeli kya mirembe gyonna.” Abantu bonna ne baleekaana nnyo nga batenda Omukama, kubanga omusingi gw'Ekiggwa ky'Omukama gubangiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.” Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayimba nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti, “Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri.” Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene nga batendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayimba omuddiŋŋanwa nga batendereza era nga beebaza Mukama nga bagamba nti: “Mukama mulungi, n'okwagala kwe ku Yisirayeli kwa mirembe gyonna.” Abantu bonna ne baleekaana nnyo n'amaanyi gaabwe gonna nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw'Essinzizo gutandikiddwa. 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimbiragana nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri. Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene bwe baatendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo.