Ezra 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abangi ennyo mu bakabona abakadde, ne mu Baleevi n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abaali balabiddeko ddala n'amaaso gaabwe Ekiggwa ekyasooka, ne bakuba ebiwoobe nga balaba omusingi gw'Ekiggwa kino gubangibwa, kyokka era bangi ne baleekaana olw'essanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bangi ku bakabona n’Abaleevi abakadde, n’Abakulu b’ebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ng’amaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ng’omusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ng’abalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'abakulu be nnyumba za bakitaabwe, n'abakadde abaalaba ennyumba eyasooka, emisingi gy'ennyumba eno bwe ggyassibwawo mu maaso gaabwe, ne bakaaba amaziga n'eddoboozi ddene; so nga abalala bangi bayogerera waggulu n'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bangi ku bakabona n'Abaleevi, n'abakulu b'ennyumba, abakadde abaalaba Essinzizo eryasooka, bwe baalaba omusingi gw'Essinzizo lino nga guzimbibwa, ne batema emiranga. Naye abalala abaaliwo ne baleekaana nnyo olw'essanyu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abakadde abaalaba ennyumba eyasooka, emisingi gy'ennyumba eno bwe gyassibwayo mu maaso gaabwe, ne bakaaba amaziga n'eddoboozi ddene; bangi ne boogerera waggulu n'essanyu: