Ezra 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali yali asobola kwawula ddoboozi lya kuleekaana okw'essanyu ku ddoboozi ly'okukaaba kubanga abantu baali baleekaana nnyo; n'oluyoogaano lwatuuka wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga si kyangu okwawula amaloboozi g’abo abaali bakaaba n’abaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’amaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu n'okuyinza ne batayinza kwawula eddoboozi ery'okwogerera waggulu n'essanyu n'eddoboozi ery'okukaaba kw'abantu, kubanga abantu baayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga tewali muntu ayinza kwawula kuleekaana kwa ssanyu na kwa nnaku, kubanga baaleekaana nnyo, oluyoogaano ne luwulirwa wala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu n'okuyinza ne batayinza kwawula ddoboozi lya kwogerera waggulu n'essanyu n'eddoboozi ery'okukaaba kw'abantu: kubanga abantu baayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala.