Ezra 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeswa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne baganda be bonna, ne bazimba omwaliiro gwa Katonda wa Yisirayeli, baweererezeeko ebitambiro ebyokye, nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka lya Musa omuntu wa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeswa mutabani wa Yehozadaaki ne bakabona banne, ne Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, wamu n'ab'eŋŋanda ze, ne bazimba alutaari ya Katonda wa Yisirayeli ey'okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira, ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.