Ezra 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bagoberera entereeza eyawandiikibwa, baakuza Embaga y'Ensiisira, nga baweereza ebitambiro ebyokye buli lunaku okwenkana n'omuwendo gwabyo buli lunaku ng'etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ng’etteeka bwe liri, ne bakwata embaga ey’ensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng’omuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakwatanga embaga ey'ensiisira nga bwe kyawandiikibwa, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwali, ng'ekiragiro bwe kyali, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakuza olunaku olw'okujjuukirirako ensiisira, nga bwe kyawandiikibwa. Buli lunaku ne bawangayo ebitambiro ebyokebwa ebiragirwa okuweebwayo ku lunaku olwo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakwatanga embaga ey'ensiisira nga bwe kyawandiikibwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwali, ng'ekiragiro bwe kyali, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali;