Ezra 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era baaweereza n'ebitambiro ebyokye ebya bulijjo, n'eby'embaga y'Okuboneka kw'Omwezi, n'ebitambiro by'embaga enkulu eziragiddwa Omukama, n'ebitambiro byonna ebyeyagalire ebyaweerezebwanga Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza Mukama ezaalagirwa, ate n’ekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri Mukama ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma ne bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'emirembe gyonna, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga zonna eza Mukama ezaalagirwa, n'ebya buli muntu eyawaayo ng'ayagadde ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'oluvannyuma ne bawangayo ebitambiro ebya bulijjo ebyokebwa, era n'ebyo ebiweebwayo ku Mbaga ey'Okuboneka kw'Omwezi, ne mu nkuŋŋaana zonna eza bulijjo, mwe baasinziriza Mukama, n'ebyo byonna buli muntu bye yawaayo eri Mukama nga yeeyagalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'oluvannyuma ekiweebwayo ekyokebwa eky'emirembe gyonna, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga zonna eza Mukama ezaalagirwa, n'ebya buli muntu eyawaayo ng'ayagadde ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama.