Ezra 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwomusanvu baatandika okuweereza Omukama ebitambiro ebyokye, newandibadde nga Ekiggwa kya Katonda kyali tekinnabangibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, newaakubadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya Mukama gwali tegunnazimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baatandikira okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. Naye emisingi gya Yeekaalu ya Mukama nga teginnaba kussibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'omusanvu, kwe baatandikira okuwaayo eri Mukama ebitambiro ebyokebwa, newaakubadde nga baali tebannatandika kuzimba musingi gwa Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baasookera okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama: naye emisingi gya yeekaalu ya Mukama nga teginnaba kussibwawo.