Ezra 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baawa ssente abakomozi b'amayinja n'ababazzi, ne bawa emmere, eby'okunywa n'omuzigo abantu b'e Sidoni n'e Tiiro, baleete emiti gy'entolookyo okuva mu Lebanoni, bagiseeyeyeze ku nnyanja okutuuka e Yoppa, nga Kuuro kabaka wa Buperusi bwe yali abakkirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bawa abazimbi n’ababazzi ensimbi, ne bawa n’ab’e Sidoni n’ab’e Tuulo ebyokulya n’ebyokunywa n’amafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ng’ekiragiro kya Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bawa abazimbi n'ababazzi ensimbi; n'eby'okulya n'eby'okunywa n'amafuta ne babiwa ab'e Sidoni n'ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawa abazimbi n'ababazzi ensimbi, era ne bawa ab'e Tiiro n'ab'e Sidoni emmere n'ebyokunywa, n'omuzigo, okuleeta emivule egy'e Lebanooni, nga bagiyisa ku nnyanja okugituusa e Yoppa, nga Kabaka Kuuro ow'e Perusiya bwe yabakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bawa abazimbi n'ababazzi effeeza; n'ebyokulya n'ebyokunywa n'amafuta ne babiwa w'e Sidoni n’ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira.