Ezra 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe ba Yuda ne Benyamiini bwe baawulira nti abawaŋŋangusibwa bazimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli ekiggwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng’abaana ba Isirayiri abaali mu buwaŋŋanguse batandise okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalabe b'abantu ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe b'abantu ba Yuda ne Benyamiini bwe baawulira nti abaava mu buwaŋŋanguse bazimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira yeekaalu Mukama Katonda wa Isiraeri;