Ezra 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abalala mu mawanga oweekitiibwa Osunappari omututumufu be yawaŋŋangusa n'abassa mu bibuga bya Samariya ne mu bitundu ebirala Emitala w'Omugga __
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, n’abateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w’omugga Fulaati ne bawandiika nti:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yawaŋŋangusa n'abasenza mu bibuga by'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wamu n'abantu abalala bonna, Oweekitiibwa era Ow'obuyinza Osunappali be yasengula mu maka gaabwe, n'abasenza mu bibuga by'e Samariya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w'omugga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n’amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yasomosa n'ateeka mu kibuga ky'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, n'ebirala bwe bityo.