Ezra 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbaluwa gye baamuweereza yali efaanana bw'eti: “Ya kabaka Arutakesasuta, okuva mu baweereza bo abali Emitala w'Omugga:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti, Eri kabaka Alutagizerugizi, Okuva eri abaddu bo abasajja ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka, “Ya kabaka Alutagizerugizi; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga bakulamusizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bigambo by'ebbaluwa eyo: “Ya Kabaka Arutazeruzeesi. Abaddu bo ab'emitala w'omugga bakulamusizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga n'ebirala bwe bityo.