Ezra 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tukutegeeza, ssebo Kabaka, nti Abayudaaya abajja eno mu ffe nga bava ewuwo, baatuuka mu Yeruzaalemu, era kati bali ku kuzimba ekibuga kino ekijeemu; bamaliriza bbugwe waakyo, era baddaabiriza n'omusingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gy’oli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu eky’abantu abakozi b’ebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi n’okuzaawo bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli batuuse gyetuli era bagenze e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Ssaabasajja, tukutegeeza nti Abayudaaya abajja wano nga bavudde eyo gy'oli, bazze mu Abasiriya, era kati bazimba ekibuga ekyo ekijeemu era ekyonoonyi. Batandise okuzimba ebisenge ebikyetoolodde era banaatera okubimaliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli ne bambuka batuuse gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi.