Ezra 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssebo kabaka, twagala omanye nti singa ekibuga ekyo kizimbibwa, n'ebbugwe waakyo n'amalirizibwa, bajja kulekera awo okuwa omusolo omugereke, n'ogw'ekikungo n'empooza, oluvannyuma kabaka ajja kufiirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ng’ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale ekyo kijja kukendeeza enfuna ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Ssaabasajja, ekibuga ekyo, singa kiddamu okuzimbibwa, n'ebisenge byakyo ebikyetoolodde ne babimaliriza, abantu abo bajja kulekera awo okuwa omusolo n'empooza n'obusuulu, era ekyo kijja kukendeeza enfuna yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale enkomerero bakabaka balifiirwa.