Ezra 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tulina obuvunaanyizibwa mu lubiri, tetwagala kulaba nga kabaka asoomoozebwa, kyetuvudde tuwandiika ne tubuulira kabaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, olw’okuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, era tetuyinza kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tukutegeeza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nga bwe tufuna obuyambi obuva mu lubiri, tetuyinza kulaba kabaka ng'anyoomebwa, ne tusirika busirisi. Kyetuvudde tukutumira tukubuulire,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, so tetugwana kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tutegeeza kabaka;