Ezra 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
onoonyereze mu biwandiiko by'ebyafaayo bya bakitaabo. Ojja kuzuula mu biwandiiko ebyo nti ekibuga kino kibuga kijeemu, kiwakula ennyombo ku bakabaka n'ebitundu bye bafuga; obwedda n'obwedda kibuga kikozi kya bujagalalo. Eyo ye nsonga kyekyava kizikirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
banoonye mu bitabo eby’okujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka n’abaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ng’ekijeemu okuva mu biro eby’edda. Era kyekyava kizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo, ojja kuzuula mu biwandiiko era otegeere ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era ng'okuva edda n'edda kitawaanya nnyo bakabaka n'abafuzi n'abamasaza era nga baajeemyanga abantu; ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
onoonyereze mu biwandiiko bya bajjajjaabo, ojja kuzuula mu biwandiiko ebyo nga bulijjo ekibuga ekyo kibadde kijeemu, era ng'okuva edda n'edda kitawaanya nnyo bakabaka n'abafuzi ab'amasaza. Abantu baamu bulijjo bazibu nnyo okufuga, era ekyo kye kyakireetera n'okuzikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo: bw'otyo bw'olisanga mu kitabo eky'okujjukiza, n'otegeera ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n'amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biro eby'edda: ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa.