Ezra 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tukubuulira, ssebo kabaka, nti ekibuga ekyo bwe kizimbibwa ne bbugwe n'amalirizibwa, tojja kusigaza kantu Emitala w'Omugga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo n’azzibwawo, tolibaako ne ky’osigaza emitala w’omugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tutegeeza kabaka, nti ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, oliba tokyasobola kufuga kitundu kino ekiri emitala w'omugga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Ssaabasajja, tukukakasa nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa, n'ebisenge byakyo ebikyetoolodde ne biggwa, oliba tokyasobola kufuga kitundu ky'emitala w'omugga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tutegeeza kabaka, ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga olw'ekyo toliba na kitundu emitala w'omugga.