Ezra 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'aweereza okuddamu nti: “Ya Rekumu munnamateeka omukulu, Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abali mu Samariya ne mu kitundu ky'Emitala w'Omugga. Mirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’abaddamu bw’ati nti: Eri Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaabeeranga mu Samaliya, ne mu bifo ebirala ebiri mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, Mbalamusizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'abaddamu nti, “Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, mbalamusizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abaddamu nti: “Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannammwe bonna ab'omu Samariya, n'abalala ab'emitala w'omugga, mbalamusizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'atumira Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga n'addamu nti Emirembe n'ebirala bwe bityo.