Ezra 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne basemberera Zerubabbeli n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Tuzimbe wamu nammwe, kubanga naffe tuli nga mmwe, tunoonya Katonda wammwe; tubadde tumutambirira okuva mu budde bwa Esari-Kaddoni kabaka wa Assuri, eyatuleeta wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ebika ne boogera nti, “Mutukkirize tubayambeko okuzimba, kubanga tuli nga mmwe, era tusinza Katonda wammwe, era okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli, eyatuleeta wano tuwaayo ssaddaaka eri Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne balyoka basemberera Zerubbaberi n'abakulu be nnyumba za bakitaabwe ne babagamba nti, “Katuzimbire wamu nammwe, kubanga tusinza Katonda wammwe, era tubadde tuwaayo ssaddaaka gyali okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatuleeta wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagenda balabe Zerubabbeeli n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Ka tuzimbire wamu nammwe Essinzizo, kubanga Katonda gwe musinza naffe gwe tusinza, era tubadde tuwaayo ebitambiro gy'ali, okuva ku mirembe gya Esaruhaddoni, kabaka w'Assiriya, eyatuleeta okubeera wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balyoka basemberera Zerubbaberi, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti Ka tuzimbire wamu nammwe: kubanga tunoonya Katonda wammwe era nga nammwe; era tuwaayo ssaddaaka eri ye okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatulinnyisa wano.