Ezra 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeruzaalemu yafugibwako bakabaka ab'amaanyi, abaafuganga ensi eyo yonna eri Emitala w'Omugga, nga basasulwa omusolo omugereke n'ogw'ekikungo n'empooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerusaalemi kyalina bakabaka ab’amaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala w’omugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, n’empooza okuva mu kitundu ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga, era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Abasiriya, kyafugibwako bakabaka ab'amaanyi, abaafuganga n'ebitundu byonna eby'emitala w'omugga, nga basoloozaamu omusolo, n'obusuulu, n'empooza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza.