Ezra 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyise mangu ekirangiriro abantu abo bayimirize okuzimba; baleme kwongera kuzimba kibuga ekyo okutuuka nga waliwo ekirangiriro kye mpisizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogw’okuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo okuzimba ekibuga ekyo okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo mulagire abantu abo, balekere awo okuzimba ekibuga ekyo, okutuusa lwe ndiwa ekiragiro ekirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo, ekibuga ekyo kireme okuzimbibwa okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala.