Ezra 4:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye, ensobi eno temugigayaalirira. Lwaki akabi kano kandyeyongedde ne kagootaanya obwakabaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mwekuume muleme okutenguwa, kino mukikole mangu, akabi kandikulidde ki okufiiriza kabaka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino mukikole mangu, akabi kaleme kweyongera kufiiriza kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mwekuume muleme okutenguwa mu kino: akabi kandikulidde ki bakabaka ne bafiirwa?