Ezra 4:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiwandiiko ky'ebbaluwa ya kabaka Arutakesasuta olwasomerwa Rekumu munnamateeka omukulu, ne Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe ne bagenda bunnambiro eri Abayudaaya mu Yeruzaalemu ne babakaka n'amaanyi okuyimiriza okuzimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo n’amaanyi okugenda mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebbaluwa eyaddibwamu eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali okuzimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehumu, ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala, bwe baawulira ebigambo by'ebbaluwa Kabaka Alutazeruzeesi gye yawandiika, ne bagenderawo e Abasiriya, ne bakaka Abayudaaya okuyimiriza omulimu ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali.