Ezra 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Zerubabbeli, Yeswa n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe eza Yisirayeli ne babagamba nti: “Si buvunaanyizibwa bwammwe okuzimbira Katonda waffe ekiggwa wamu naffe, wabula ffe ffekka ffe tunaazimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli, nga Kuuro kabaka wa Buperusi bwe yatulagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti, “Temulina kigambo naffe mu kuzimbira Mukama Katonda waffe ennyumba, naye ffe fekka tulizimbira Mukama Katonda wa Isiraeri nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zerubabbeeli ne Yeswa n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Tetwetaaga buyambi bwammwe okuzimbira Mukama Katonda waffe Essinzizo. Tujja kulyezimbira, nga kabaka Kuuro ow'e Perusiya bwe yatulagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti Temulina kigambo naffe okuzimba ennyumba eri Katonda waffe; naye ffe fekka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo Kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.