Ezra 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baaguliriranga abakiise mu nkiiko babalyolyome, babasobeze mu ntegeka zaabwe ebbanga lyonna nga Kuuro ye kabaka wa Buperusi n'okutuuka ku bufuzi bwa Dariyo kabaka wa Buperusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagulirira abantu okubawakanya n’okulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka w’e Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagulirira abawa kabaka amagezi babaziyize, era ne babaziyiza okuzimba mu mirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo lwe yafuuka kabaka w'e Buperusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagulirira abawa kabaka amagezi babaziyize, era ne babaziyiza okuzimba, mu kiseera kyonna Kuuro kye yamala nga ye kabaka wa Perusiya, n'okutuusa ku mirembe gya Kabaka Dariyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagulirira ab'okusala amagezi okubaziyiza okutta okuteesa kwabwe emirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo kabaka w'e Buperusi lwe yalya obwakabaka.