Ezra 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Aggayi omulanzi ne Zakariya omulanzi, mutabani wa Yiddo, ne balanga eri Abayudaaya abaali mu Yuda ne mu Yeruzaalemu, mu linnya lya Katonda wa Yisirayeli eyabaliko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya muzzukulu wa Iddo ne bategeeza Abayudaaya abaabeeranga mu Yuda ne Yerusaalemi obubaka obuva eri Katonda wa Isirayiri, Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bannabbi, Kaggayi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne boogera ebya Katonda eri Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baayogerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abalanzi Haggayi ne Zekariya, mutabani wa Yiddo, ne balanga mu linnya lya Katonda wa Yisirayeli, eri Abayudaaya abaali mu Buyudaaya ne Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bannabbi, Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne balagulira Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baabalagulirira.