Ezra 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twababuuza n'amannya gaabwe, tulyoke tuwandiike amannya g'abasajja ababakulira olw'okukumanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era twababuuza n’amannya gaabwe, tusobole okukuweereza amannya g’abakulembeze baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne tubabuuza n'amannya gaabwe, tulyoke tukutegeeze amannya g'abasajja ababakulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne tubabuuza amannya gaabwe, tulyoke tukutegeeze abantu abakulira omulimu ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne tubabuuza n'amannya gaabwe; okukutegeeza, tuwandiike amannya g'abasajja ababakulira.