Ezra 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baatuddamu bwe bati: ‘Ffe tuli baweereza ba Katonda w'eggulu n'ensi; tuzimba buto ekiggwa ekyali kizimbiddwa wano emyaka mingi egiyiseewo, kabaka wa Yisirayeli omukulu kye yali azimbye n'akimaliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baatuddamu nti: “Tuli baddu ba Katonda w’eggulu n’ensi, era tuddaabiriza yeekaalu eyazimbibwa emyaka egy’edda omu ku bakabaka abakulu aba Isirayiri, n’agimala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ne baddamu nti, ‘Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda era n'emalirizibwa kabaka wa Isiraeri omukulu emyaka mingi egiyise.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne batuddamu nti: ‘Tuli baweereza ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba buggya Essinzizo eryazimbibwa era ne limalirizibwa kabaka wa Yisirayeli omukulu, emyaka mingi egiyise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ne baddamu bwe batyo nti Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda emyaka giri emingi kabaka wa Isiraeri omukulu gye Yazimba n'amala.