Ezra 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bajjajjaffe baanyiiza Katonda w'eggulu, n'abawaayo mu mikono gya Nebukadunezzari Omukaludeya, kabaka w'e Babiloni, eyazikiriza ekiggwa kino, abantu baayo n'abawaŋŋangusiriza mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’okuba nga bajjajjaffe baasunguwaza Katonda w’eggulu, yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza Omukaludaaya, kabaka w’e Babulooni, eyazikiriza yeekaalu eno n’atwala abantu e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oluvannyuma bajjajjaffe bwe baali basunguwazizza Katonda w'eggulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni Omukaludaaya, eyazikiriza ennyumba eno n'atwala abantu e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bajjajjaffe bwe baanyiiza Katonda w'eggulu, n'abavaamu. Nebukadunezzari Omukaludaaya, kabaka w'e Babilooni, n'abawamba, n'abatwala mu Babilooniya, n'Essinzizo n'alizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oluvannyuma bajjajjaffe bwe baali basunguwazizza Katonda w'eggulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni Omukaludaaya, eyazikiriza ennyumba eno n'atwala abantu e Babulooni.